Job 6

Yobu Ayanukula

1Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,

2 a“Singa okweraliikirira kwange,
n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
3 bWeewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
4 cObusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
entiisa ya Katonda erwana nange.
5Entulege ekaaba awali omuddo,
oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
6Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
7 dOmutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
biri ng’emmere etangasa.

8 e“Singa Katonda ampa kye nsaba,
n’ampa kye nsuubira,
9 fyandisiimye okumbetenta
ne mmalibwawo omukono gwe.
10 gKino kyandikkakkanyizza
obulumi obutakoma
kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 hAmaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12Amaanyi gange ga mayinja
oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 iMu mazima sirina maanyi
n’obusobozi bwanzigwako.
14Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15 jBaganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
ate ne kakalira,
16akaddugalirira
buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17 kate ne kaggwaawo
buli lwe wabaawo ebbugumu.
18Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19 lAbatambuze b’e Teema banoonya,
bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20 mBaalina essuubi
naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21 nKaakano bwe mundabye ne mutya
ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? 

24 o“Njigiriza nange n’aba musirise;
ndaga we nsobezza.
25 pEbigambo eby’amazima nga bya bulumi!
Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26 qMugezaako okugolola ebigambo byange,
ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27 rMukubira ne bamulekwa akalulu
ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.

28 s“Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire.
Ndabika ng’omulimba?
29 tMufumiitirize, temusuula bwenkanya;
Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.
30 uEmimwa gyange girabika ng’egirimba?
Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”
Copyright information for LugEEEE